Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 233 Nkwagala, Nkwagala Lyrics
1
Nkwagala, nkwagala, nkwa-gala Yesu,
Mulokozi wange, Ka-tonda wange;
Obanga nkwagala, kino (o)kimanyi!
Ebikolwa byange, bi-naakakasa.
2
Nsanyuka, nsanyuka, nga- kyakitalo!
Nnengera, nnengera, e-nsi ennungi;
Njagal(a) okubeera (a)wamu ne Yesu,
Era n’okulaba ba-malayika.
3
Mulokozi wange, O-mpadd(e) essanyu;
(O)bulamu, kuwummula- n’emirembe,
Kwagalakwo kungi, nnaakwebazanga,
(E)kisakyo kinsanyusa- omutima.
4
Ani afaanana Ye-su Kabaka,
Gwennaayimbangako e-nnaku zonna?
Kammutenderereze, muyimbire nnyo,
Kubanga njijudde e-ssanyu lingi.