Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 96 Kiki Ekintukuza? Lyrics
1
Kiki ekintukuza, Musaayi gwa Yesu gwokka,
Kiki ekinnongoosa, Musaayi gwa Yesu gwokka.
chorus 1
Musaayi Gwe gwokka, Gwe guntukuza nze,-
Tewali kirala, Musaayi gwa Yesu gwokka.
2
Mmanyi ekintukuza, Musaayi gwa Yesu gwokka,
Kye mpoza kiri kimu, Musaayi gwa Yesu gwokka.
3
Tewali kintu kyonna, Musaayi gwa Yesu gwokka,
Tewali kye nkola nze, Musaayi gwa Yesu gwokka.
4
Essuubi lyange lyonna, Musaayi gwa Yesu gwokka,
(O)butukirivu bwange, Musaayi gwa Yesu gwokka.
5
Era mmutendereza, Olwomusaayi gwe Yesu,
Aweebwe ekitiibwa, Olwomusaayi gwe Yesu.