Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 80 Tuwe Omuliro Ogwo Lyrics
1
Tuwe omuliro ogwo,
Ggwe wawa bajjajja baffe;
Ogwabawukanya mu nsi
Ogwabawang(a) obuzira.
2
Fuka ku ffe Omwoyo wo
Gwe wawa bajjajja baffe;
Era gwe wawa Paulo,
N’abunyisa Enjiri yo.
3
(A)maanyi ge wawa Eriya,
Kakati tugetaaga nnyo,
Musa yamasamasanga,
Yobu yagumikiriza.
4
Jjukir(a) ebiro eby’edda
Oze (o)buggy(a) omulimu gwo!
Tukuwadd(e) emyoyo gyaffe;
Fuka amaanyi go ku ffe.