Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 72 Tunaazimba ku Lwaki Kristo Lyrics
1
Tunazimba ku lwazi Kristo, Olwazi- olwo (o)lulamu;
Okubwatuka n’omu-yaga, Nga bizze tetulitya.
chorus 1
Ffe- tu – – nazimba, Ffe- tu – -nazimba,
(Tunazimba ku Lwaz(i) olugumu, Tunazimba ku Lwaz(i) olugumu)
Ffe tunazimba ku Lwazi lwaffe,
Yesu Kristo yekka.
2
(A)bamu bazimba ku mu-senyu, Ku birooto by’obugagga;
Abalala bazimba- (a)wabi, Ku musingi gw’ekibi!
3
Waliw(o) abazimba ku- nnyombo, Ku bitiibwa ku malala;
Naye ggwe nno zimba ku- Lwazi, Olugumu, ye Yesu.