Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 58 Nze Ndowooza ku Nsi Lyrics
1
Nze ndowooza ku nsi Eyo ennungi ennyo
Yesu gy’alitutwala fenna,
Olw’ekisa kye Oyo eyatwagala
Ndiba n’emmunyenye mu ngule!
chorus 1
Mu ngule yange mulibaamu (e)mmunyeenye
Obuddde obwo bwe bulikya?
Nga ntuuse mu bifo bir(i) eby’omu ggulu, —
Ndiba n’emmunyenye mu ngule?
2
Mu maanyi ga Yesu ka nkole, ka nsabe,
Ka nfube okubuuliranga;
Emmunyenye ezo ziriba nnyingi nnyo,
Mu ssanyu lir(i) eritakoma.
3
Ndisanyuka nnyo bwe ndiraba ku Yesu
Nga nnyanjula bennabuulira;
Nasanyukanga mu maaso ge bwe ndiba
N’emmunyenye mu ngule yange.