Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 5 Ka Tumusinze Mukama Waffe Lyrics
1
Katumusinze Mukama waffe,
Katuyimbe ku kwaga-l(a) okungi.
Oyo yekka kye kiddukiro kyaffe,
Ekitiibwa kyonna kimuwe-toloola.
2
Tuyimbe ku kisa kye ekingi,
(E)byambalo bye gwe (o)musa-na gwensi;
Okubwatuka kwe kutiisa byonna,
Amakubo ge gali ne- mu mpewo.
3
Obuyinza bwe era nentiisa,
Birabikira wonna- ku bire;
Eggulu neraddu nomuyag(a) era,
Byonna baddu be abamwu-wereza.
4
Wansi weggulu (O)mugulumivu,
Wateekebwa dda enku-luze yo;
Ye nsi gye watonda nogyetolooza,
Ennyanja zonna nga ensa-lo zaayo.
5
Ani ayinza okunnyumiza, Ebyo,
(O)mugabi waffe,- by’ogaba?
Eby’ekisa kyo, byebitwewunyisa:
Katonda, Mulokoz(i), era- Kabaka!