Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 125 Kabaka We Ggulu Lyrics
1
Kabaka we – Ggulu, Tutenda e-rinnya lyo,
Tukusinze! Ggw omuwanguzi,
Nannyini kitiibwa, otufuge leero, Omutonzi!
2
(O)mwoyo (O)mutu-kuvu, Ggwe otuwo-lereze,
Fenna leero! Ggwe Ayinza byonna, Fuga emitima,
Totuvangako Ggwe Ow’amaanyi.
3
(O)mwana wa Ka-tonda, Okomewo- mangu nnyo;
Beera naffe! Tukole by’osiima, Byoyagala byonna
Emirembe gyonna, Tube babo.