Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 108 Wulira Eky’essanyu Lyrics
1
Wulira eky’essanyu, Yesu alokola
Ka tukibunye wonna, Yesu alokola,
Bunyisa mu nsi zonna, Ku nsozi n’ebizinga,
Katonda bw’atugamba, Yesu alokola.
2
Bulira buli muntu, Yesu alokola.
Tegeeza abonoonyi, Yesu asonyiwa.
Mmwe (e)bizinga muyimbe, N’amayengo ge nyanja,
Ensi eyogaane nnyo, Yesu alokola.
3
Muyimbe mmw(e) abalwanyi, Yesu alokola.
Olwokufa kwe kwokka, Yesu alokola.
Ne bw’obeera mu nnaku, Ng’olumwa mu mwoyo gwo,
Ne mu kufa yimba nti, Yesu alokola.
4
Yimba nnyo mu bbanga nti, Yesu alokola.
Ensi zonna ziyimbe, Yesu alokola.
Obulamu bwa buwa, Buulira mu mawanga,
Kwe kuwangula kwaffe, Yesu alokola.