Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 52 Mpa Ekitabo Ekitukuvu Lyrics
1
Mpa Ekitabo Ekitukuv(u) ennyo, Kindag(a) ekkubo nze akooye nnyo,
Tewali kirobera kwaka kwakyo, Kirag(a) Omulokozi nga bwali.
chorus 1
Mpa Ekitabo Ekitukuv(u) ennyo,
Ndyoke ndagirirwe ekkubo lyo,
Nnung’ame mu mateeka agalimu
(O)kutuusa ku lunaku lw’olidda.
2
Bwe mba mu nnaku, ye ttabaaza yange, Ekibi bwe kindeter(a) okutya,
Mukama ondage Ekigambo kyo, Olwokwaka kwakyo nkulabenga.
3
Ommulisizenga ekkubo lyange, Ompe okudduka ensi eno,
Ng’onjakiz(a) ettabaza y’omu ggulu, Endag(e) ekkubo ery’emirembe.
4
Omp(e) ettabaza ey’Obulokozi, Enteketeeke olwokudda kwo,
Ndab(e) omusana gwo ogwomu ggulu, Mu kitiibwa kyo ekitaggwawo.