Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 51 Ggwe Yesu Oli Wange Lyrics
1
Ggwe Yesu oli wange ddala, Ggwe wekka Ggwe ekitiibwa kyange;
Ndi musika w’obulokozi, Nagulibwa na musaayi gwo.
chorus 1
Nze nnaakuyimbiranga Yesu, Nga nkutendereza bulijjo;
Nze nnaakuyimbiranga Yesu, Nga nkutendereza bulijjo.
2
Nze ndi wuwo era nsanyuka, Nga nnenger(a) essanyu lyo lyonna;
Bamalayika bo nga bajja, Nga bandaga okwagala kwo.
3
Mu Ggwe nnina ekiwummulo, Njijudd(e) essanyu lyo eringi,
Nyimusibwa mu mwoyo gwange, Ntadde essuubi lyonna mu Ggwe.