Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 33 Onsembeze Ayi Mukama Lyrics
1
Onsembeze ayi Mukama, Naye sirina konna ke nkuwa;
Onkumire mu mikono gyo, Akabi konna gyekatatuuka. x2
2
Onsembeze ayi Mukama, Naye sirina konna ke nkuwa;
Ndeese ebibi byange byonna, Gwe onongoose nomusaayi gwo. x2
3
Onsembeze mbe wuwo wekka, Ebibi byange byonna mbiwaayo;
Nokwesiima kwonn(a) okwekibi, Netaaga Yesu eyanfiirira. x2
4
Onsembereze ddala gyoli, Ontuuse mu kitiibwa kyo kiri;
Eky’emirembe n’emirembe, Mbeerenga wamu ne Yesu wange. x2