Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 29 Ggwe Yesu Omulokozi Lyrics
1
Gwe Yesu Omu-lokozi, nkwagala,
Ebyonoono bya-nge byonna mbikyaye;
Ggwe wekka omwa-galwa wa-nge Yesu,-
Mukwano gwange- Yesu, nkwa-gala nnyo.
2
Kuba ggwe wasoo-ka, nange nkwagala,
Wangula n’omu-saayi gwo bwe wafa;
Ku lw’engule (e)y’a-maggwa ka-nkwagale,-
Mukwano gwange- Yesu, nkwa-gala nnyo.
3
Mu ssanyu ne mu- nnaku, nze nkwagala,
Nasuutanga e-rinnya lyo bulijjo;
(O)kufa nga kuse-mbedde ndyo-gera nti:-
Mukwano gwange- Yesu nkwa-gala nnyo.
4
Bwe ndiba nga ntu-se eyo mu ggulu,
Ndikusinza no-kwagala okungi;
N’okuyimba ndi-yimba n’e-ssanyu nti:-
Mukwano gwange- Yesu nkwa-gala nnyo.