Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 246 Tambulira Mu Musana Lyrics
1
Tambulira mu musana- Yesu gwe Musana-
Omwoyo Omutukuvu- Anaakusanyusa.
chorus 1
Ta – m b u li ra – Mu – musana –
[Tambulira mu musana gwa Katonda] [Tambulira mu musana gwa Katonda]
Ta – m b u li ra – Mu musana gwa Katonda
[Tambulira mu musana gwa Katonda]
2
Tambulira mu musana- Ogw’Ekigambo kye-
[E]ttaabaza y’abavubuka – Abeesiga Yesu.
3
Tambulira mu musana- Muns[i] eyenzikiza
Omusana gwe bwe gwakam (E)nzikiza edduka.
4
Tambulira mu musana- Katond[a] akwagala –
Ye Mukwano gw(o) owoku nsi – Era ne mu ggulu.