Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 225 Lya Kitibwa Erinya Lyo Lyrics
1
(O)mulokozi tukusinza, Tubuulir(a) e-kisa kyo;
Ggwe (O)wamaanyi (O)mutukuvu, Lya kitiibw(a) e-rinnya lyo.
chorus 1
Lya – – – – ki – -tiibwa x2 Lya kitiibw(a) erinnya lyo;
[Lya kitiibw(a) erinnya lyo)x2
Lya – – – – ki – – tibwa x2 Lya kitiibw(a) erinnya lyo.
[Lya kitiibw(a) erinnya lyo]x2
2
(O)mununuz(i) era Mukama, (O)musan(a) ogu-takoma;
(A)batukuvu mu nsi zonna, Bayimbe ng(a) e-ttendo lyo.
3
Walek(a) entebe mu ggulu, N’ojja ku mu-saalaba;
N’ofa nga ssaddaaka yaffe, (A)bonoonyi tu-be babo.
Jjang(u) Omulokoz(i) atafa, Otuule ku- ntebe yo;
Ofug(e) emirembe gyonna, Obwakaba-ka bubwo.