Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 215 Esisa Ekyewuunyisa Lyrics
1
(E)kisa kya Yesu kyewuunyisa, Kisinga nnyo ekibi kyaffe;
Kyalagibwa ku musaalaba, Omusaayi gwe gye gwayiika.
chorus 1
E – ki – sa – kye, Kingi ddal(a) era kitukuza,
[Kyewunyisa, Tekikoma]
E – ki – sa – kye; Kisonyiya ekibi kyaffe.
[Kyewunyisa, Tekikoma]
2
Ekibi n’okuggwam(u) essuubi, Bitiisa nnyo emyoyo gyaffe
Ekisa ekitagambika, Kitulaga omusalaba.
3
Tetuyinza kukisa bbala, Kik(i) ekiyinz(a) okulyozaawo?
Laba ensul(o) ey’omusaayi, Oyinz(a) okutukula leero.
4
Ekisa ekitenkanika, Kya bwereere er(i) akkiriza;
Mmwe abaagal(a) okumulaba, Mwetag(a) ekisaky(e) olwa leero?