Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 202 Tunaatera Okutuuka Eka Lyrics
1
Leka tuyimbe oluyimb(a) olw’essanyu, Tunater(a) okutuuka eka,
(E)kiro kiggwewo (o)musana gwake wonna, Tunaatera(a) okutuuka eka.
chorus 1
Tuli kumpi nnyo, Tuli kumpi nnyo, Okusomok(a) ens(i) eno;
Tusisinkane ng’ebizibu bikomye, Tunaater(a) okutuuka eka.
2
Tulikol(a) emirimu nga tusanyuka, Tunaater(a) okutuuka eka.
Tulinywezebwa ekisa kya Katonda, Tunaater(a) okutuuka eka.
3
Tuyambe bonna abakooye mu kkubo, Tunaater(a) okutuuka eka.
Tubalage okwagala kwa Katonda, Tunaater(a) okutuuka eka.
4
Tuliwona ebizibu eby’ens(i) eno, Tunaater(a) okutuuka eka.
Teriba maziga mu kibuga ekyo, Tunaater(a) okutuuka eka.