Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 198 Waliwo omusaayi Ogw’amaanyi Lyrics
1
Oyagal(a) osonyiyibw(e) ebibi? Mu musaayi gwe, Mwonaazibwa;
Oyagal(a) owangule ekibi? Omusaayi gwe gumala.
chorus 1
Waliw(o) omusaay(i) ogw’amaanyi, Oguva mu Yesu,
Waliw(o) omusaay(i) ogw’amaanyi
Gwa muwendo mungi nnyo.
2
Oyagal(a) ove mu by’amalala? Mu musaayi gwe, Mwonaazibwa;
Genda ku musaalab(a) onaazibwe, Omusaayi gwe gumala.
3
(O)kutukul(a) okusing(a) omuzira, Mu musaayi gwe, Mwonaazibwa;
Gusangul(a) amalala g’ekibi, Omusaayi gwe gumala.
4
Oyagal(a) owereze Mukama? Mu musaayi gwe, Mwonaazibwa;
Oyimbe nga bw’otenda Mukama? Omusaayi gwe gumala.