Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 196 Bwalijja Mukama Waffe Lyrics
1
Bwalijja Mukama waffe, Okutwala gy’ali
Abamulindiriranga, Abamwagala.
chorus 1
Ng’emmunyeny(e) ez’omu bbanga Bwe- zaaka waggulu,
N’abo bwe balibeera, Abagalwa be.
2
Aliku’nganyiza wali Abaana be bonna,
Abanyikira nnyo wano, (O)kumufanana.
3
Abakopi n’abakulu Abagala Yesu,
Baliweebw(a) empeera yaabwe, Bw’alikomawo.
4
Abaana abamwagala, Alibalokola;
Ng(a) amayinj(a) ag’omuwendo omungi ennyo.