Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 165 Yesu Yasuubiza Abaana Be Lyrics
1
Yesu vasuubiza abakkiriza,
Nti “Ndikomawo ne nembatwala gyendi;
Mutunule nga munnindirira,
(O)kutuusa lwe ndijja, mwe munywerenga.”
chorus 1
“Mwe munywerenga,” Bweyasuubiza;
“Ndibawa eggulu n’ensi empya;
Era mulifuga wamu nange, Muliweebw(a) engule,
Mwe munywerenga.”
2
Katutunule nga tusabanga,
Alijja mu ssaawa etamanviddwa;
Tumanyi nga ali kumpi ddala;
Olwobubonero bweyatuw(a) edda.
3
Essuubi lyaffe mu kigambo kye –
Kwekukomawo kwa Yesu kans(i) eno
Kyekisinga byonna obukulu,
Ffe ka tunywerenga, Alijja mangu.