Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 130 Tulina Mukwano Gwaffe Lyrics
1
Tulin(a) Omukwano gwaffe, Atuyamba bulijjo.
Bwe tunaamugoberera, Taatugobere bweru,
Wano tetufun(e) eddembe, Wano tufun(a) ennaku;
Omulokozi ye Yesu, (O)mukwano gwabonoonyi.
2
Tulin(a) Omukwano gwaffe, Alin(a) amaanyi mangi;
N’olwekyo aboluganda, Tulemenga okutya.
Tumwesige atukuuma, Tatuleka mu bibi,
Yesu ye Mukuumi waffe, (O)mukwano gw’abonoonyi.
3
Tulin(a) omukwano gwaffe, Atulu’ngamya fenna;
Mu kizikiz(a) ekikutte, Ye musana gw’abantu,
Tulemenga okunyoma, Omukisa gwa Yesu,
Ka tutendereze oyo (O)mukwano gw’abonoonyi.