Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 39 Emikisa Gyo Mukama Lyrics
1
Emikisa gyo Mukama, Mpulidde ogigaba
Abalala bagifuna, Nange ka ginjiikeko.
chorus 1
Ndi wano, ndi wano,
Nange ka ginjiikeko.
2
Yesu Mukama tonsubya, Laba bwe ndi omubi,
Naye omponye mu byonna, Ka mpebwe ku kisa kyo.
3
Weewawo nkusobezza nnyo, Era nkunakuwaza,
Nga ngoberera ebyensi, Naye nsab(a) onsonyiwe.
4
Tonvako ayi Katonda, Ggw(e) otuwa okumanya,
Ndag(a) ekisa kya Katonda, Ompe emirembe gyo.