Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 250 Ye Yanzigya Mu Ttosi Lyrics
1
[O]mutima gwange gwajjula ennaku, [E]kibi nga kinsudde wala mu bunnya;
Nga ndi mu ttosi nnakowoola Yesu, Eyanzigyayo n’amp(a) essanyu lingi
chorus 1
Yanzigya mu bitosi wansi, N’anteeka ku Lwazi Ye Yesu -;
Antaddem(u) oluyimba nnyimbe, Ka nnyimbe nnyo, Aleru – ya!
2
Yanteeka ku Lwaz[i] olugumu ennyo, Kwennyimiridde era siivengako;
Nga ndi ku Yesu sirina kya kutya, Mu kisa kye nnindirira engule.
3
Ye y’amp(a) oluyimb[a] olupya nnyimbenga (E)misana n’ekiro mmutendereze;
(O)mutima gwange gujjudd(e) emirembe, Kantendereze Yes(u) eyannunula.
4
Ka nnyimbe mmutende olw’ekisa kye, (A)bantu bonna balab(e) obulungi bwe,
Ka nnyimbe ku bulokozi bwe wonna, Abantu bonna badde eri Yesu.