Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 237 Tulina Obubaka Lyrics
1
Tulin(a) obubak(a) er(i) amawanga, Obunakyus(a) emitima,
Obw’amazima n’e-kisa, Bwaddembe bwa musana- –
Bwa mirembe bwa ssuubi.
chorus 1
Enkya ennungi ejja kunsi, Omusana gweyongere,
(O)bwakabaka bwa Yesu bujje, Obw’essanyu ne ddembe.
2
Tulin(a) oluyimb(a) er(i) amawanga, (O)lubasitul(a) emitima;
Oluwangula e-kibi, Olunagyaw(o) entalo,- –
Olunagyaw(o) entalo.
3
Tulin(a) Obubak(a) er(i) amawanga, Nti kabak(a) ow’omuggulu,
Yatuwerez(a) o-mwana we, Atulag(e) okwagala,- –
Kwagala kwa Katonda.
4
Katulag(e) ensi Omulokozi (E)yabonaabona ku lwaffe,
Abantu bonna, (a)b’o-mu nsi, Badde er(i) amazima,- –
Badde eri Katonda.