Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 224 Obwesigwa Bwo Bungi Lyrics
1
(O)bwesigwa bwo bungi, Ayi Kitaffe;
Ggwe tokyukakyuka lubeerera,
Okusaasirakwo tekuliremwa;
Ggwe waliwo era olibaawo!
chorus 1
(O)bwesigwa bwo bungi, x2
Buli lukya ndaba ekisa kyo;
(O)mukono gwo gumpadde byenetaaga
(O)bwesigwa bwo bungi gyendi Yesu.
2
(O)musana n’enkuba, n’amakungula;
Enjuba, omwezi n’emmunyeenye,
Bikuwaako byonna obujulirwa
Ku bwesigwa bwo n’okwagala kwo.
3
Onsonyiw(a) ebibi, omp(a) emirembe;
Obaaw(o) onsanyusa onnung’amya,
Omp(a) amaanyi leero, n’essuub(i) ery’enkya;
(E)mikisa gyo gyange, n’abalala.