Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 221 Mmanyi Gwenakkiriza Lyrics
1
Simanyi lwa-ki- Katonda Yanjagala- bwa-tyo,
Nz(e) omubi a-ta-sanira Nangu-la mbe- wu-we.
chorus 1
Nze mmany(i) oyo, Gwennakkiriza,
Era mmanyi nti afaayo gyendi,
Akuuma byeyasuubiza;
Okutuusa lwalidda.
2
Simanyi lwa-ki- yampa nze (E)kis(a) ekindo-ko-la,
(O)Kukkiriz(a) e-ki-gambo kye, Kwampa emi-re-mbe.
3
Simanyi (O)mwo-yo- bwakola Ng’alung’amy(a) a-ba-ntu,
Nga babikku-li-ra Yesu, Nebamukki-ri-za.
4
Simanyi bi-nni-ndiridde – Bib(i) oba bi-ru-ngi;
(O)luvannyumalwo-kukoowa, Ndirab(a) amaa-so- ge.
5
Simayi Ye-su- lwalidda, Kir(o) o-ba mi-sana,
Katambule na-ye wano Era ne mu-ns(i) e-mpya.