Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 217 Tunula Obe Mulamu Lyrics
1
Tunula ku musalab(a) owone
Yes(u) agamba, “Ntunuulira!”
(O)bugagga bwensi bwo temuli
Ndab(a) obugagga mu musalaba.
chorus 1
Tunul(a) o – be mulamu
Tunul(a) e – Gologoosa
(O)bulokozi bwa buwa
Tunul(a) e – Gologooza.
2
Bwennatunuulir(a) Omulokozi,
N’alab(a) akamwenyumwenyu,
(E)bizibu bw’ebija nga bingi;
Nfuuna amaanyi mu musalaba.
3
Ka ngutunuulirenga bulijjo,
Nga nneesig(a) ekisuubizo;
Nti tewali aliwangulwa,
Eyeesiga amaanyi g’eggulu.