Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 216 Muzaalibwe Buggya Lyrics
1
Nikodemu ya-jja eri Yesu,
Namubuuz(a) ekkubo ly’obulokozi;
Yamuddamu, “O-kulokolebwa,
Ggwe zaalibwa buggya!”
chorus 1
Muzaalibwe- buggya x2
Ddala ddala mbagamba kino kyokka,
Mu – – – zaalibwe buggya.
2
Abantu mwenna- mukiwulire,
Ekigambo Yesu kyeyayogera;
Temugaya o-bubak(a) obwo
Muzaalibwe buggya.
3
Bwoba onooyingi-r(a) ekiwummulo,
Oyimb(o) oluyimba lw’abanunule;
Ng’oyagala obu-lam(u) obutaggwawo
Ggwe zaalibwa buggya.