Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 211 Eyazaawa Azaawuse Lyrics
1
Mukub(e) ennanga munsi ne mu ggulu,
Omwan(a) eyazaawa azaawuse;
Laba Katonda nga amwaniriza,
Mu ssanyu ng’amusisinkana.
chorus 1
Bamalayika bayimbe nnyo
Mu kitiibw(a) ennanga zivuge
Eggye ly’abanunul(e) nga tuyimba
(O)luyimba lw’Omwana gw’Endiga.
2
Mukub(e) ennanga munsi ne mu ggulu,
Eyazaawa asonyiyiddwa;
Anunuliddwa mu ns(i) en(o) ey’ekibi,
Lab(a) azaaliddwa buggya nate.
3
Embaga etegekeddwa muyimbe!
Oluyimb(a) olw’obuwanguzi,
Tegeeza ensi yonna ewulire;
Nt(i) eyazaawa wuun(o) azaawuse.