Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 203 Noonya Obubonero Lyrics
1
Noony(a) obubonero ng’otambula, Noony(a) obubonero buve kum
Okuva ku bwakabak(a) obuna, Tuli luddawa? – – – Noonya olabe.
chorus 1
Noonyerez(a) obubonero bw’obunnabbi,
Okuva ku bwakabak(a) obuna;
Noonyerez(a) obubonero bw’obunnabbi,
Tuli kumpi n’eka.
2
Okusook(a) Abasuuli baafuga; (A)bameedi n’Abaperusi nabo;
(A)bayonaani n’abo ne bafuga, Ruumi neddako – – -Tuli ludda wa?
3
Ebigere (e)by’ekyuma nebbumba, Binafu binater(a) okuggwaawo;
Kiki ekinaddirira ku nsi? Kudda kwa Yesu, – – Nens(i) eteggwaawo.