Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 192 Mmenyera Omugaati Lyrics
1
Mmenyer(a) omugaati, Ayi Yesu,
Nga bwewakola ku lubalama;
Mu byawandiikibwa Nkunoonya Ggwe;
Kigamb(o) omulamu, Nze nkwetaaga.
2
W(a) amazima gano, Omukisa,
Nga bwewakola e Galiraaya;
Obusibe bwange Obukomye;
Obeere byonna mu byonna gyendi.
3
(E)bigambo byo Yesu, Bwe bulamu,
Njagal(a) okugonda naye nnemwa;
Gwe buyambi bwange, N’obulamu;
Bweng’onder(a) ekigambo mpangula.