Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 187 Tetulyawukana Lyrics
1
Bwe tuba ku nsi ne banaffe (E)kiseera kitono,
Tuba nennaku nnyingi nnyo ffe, Nga tubasiibula.
chorus 1
Tewali kufa mu ggulu, Teri kwawukana;
Mu nsi eyo ey’essanyu, Tetulyawukana.
2
Essuubi eryo nga ddungi nnyo Nga tubasiibula,
Bwe tujjukira essubi nti, Tunaabanga nabo!
3
Tewaliba kusiibula, Mu maka gaffe ago;
Naye liriba ssanyu lyokka, Emirembe gyonna.