Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 182 Mu Nsi Ey’obutangaavu Lyrics
1
Mu nsi y’abanunule, Yeri ekibuga;
Mukama kye yazimba, Era teri kiro.
chorus 1
Katond(a) alisangula, (A)maziga gaffe gonna;
Teri nnaku na kufa-, Era teri kiro.
(Eyo teri nnaku na kufa)
2
Emiryango gya luulu, Mu kibuga ekyo;
(E)nguudo zonna za zaabu, Era teri kiro.
3
(E)nzigi teziggalwenga, Mu kibuga ekyo;
(O)bulamu tebuggwaawo, Era teri kiro.
4
(E)njuba teyetaagibwa, Mu kibuga ekyo;
Yesu musana gwakyo, Era teri kiro.