Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 16 Nkwetaaga Ayi Mukama Lyrics
1
Nkwetaaga Ayi Mukama, Nz(e) omunafu, (o)mwonoonyi;
Onkwatenga ku mukono, Ompenga ku maanyi go.
chorus 1
(O)lwa leero, buli (e)ssaawa, Nkwetaaga ayi Mukama!
(O)lwa leero, buli (e)ssaawa, Beera nange tondeka.
2
Nyambaza obuwombefu, Nze ajjudd(e) amalala;
Ntegeeza bwe nd(i) omunafu, Nsembeza kumpi gy’oli.
3
Mu Ggwe mbeera n’emirembe, Bwembeera nzekka nnemwa:
Nkuma mu lugendo lwange, Ggwe (e)ssuubi lyange lyokka.
4
Byonn(a) ebinanjijiranga, Mu ssanyu ne mu nnaku;
Ku Ggwe kwe nanywereranga, Ggwe kiwummulo kyange.