Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 105 Omusumba Omulungi Lyrics
1
Omusumb(a) omulungi Akuyita leero;
Jjangu mu kisibo kye, Owummule- mu ye.
Obang(a) oli- mukadde, Oba muvubuka,
Wulir(a) eddo-boozi lye, Yingir(a) ekku-bo lye.
chorus 1
Akuyita n’ekisa ekingi, “Jjangu gyendi eyakyama edda;
Komawo ggwe nga omutambuze, Komawo gyendi nate”.
2
Omusumb(a) omulungi yawaay(o) obulamu,
Kakano akuyita Agamba nti- “Jjangu,
Dduk(a) oleme- okufa, Waliwo akabi;
Obang(a) oli- mukadde; oba muvu-buka”.
3
Tolwa naye yanguwa dduka emisege:
Eginoonya endiga Enkulu n’o-buto
Omusumb(a) o-mulungi Akuyita “Tolwa;
Jjangu gyendi- kakano, Owummule- mu Nze”.