Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 1 Gw’oli Mutukuvi Lyrics
1
Gw’oli mutukuvu, Ayinza byonna!
Buli ku nkya tunaakutenderezanga;
Oli Mutukuvu! W’akisa wa maanyi!
Katond(a) afuga ebintu byonna
2
Gw’oli Mutukuvu, Bakutendereza,
Bamalayika bo bakuvunnamira;
(E)nkumi n’obukumi, Bakusinza wonna,
Gwe (e)yaliwo era olibaawo.
3
Gw’oli Mutukuvu, Newaankubadde,
Nga tetukulaba n’amaaso g’obuntu;
Gw’oli Mutukuvu, Tewali mulala,
Atuukiridde mu maanyi gonna
4
Gw’oli Mutukuvu, Ayinza byonna!
Emirimu gyo gitenda erinnya lyo;
Gw’oli Mutukuvu, W’akisa wa maanyi;
Katond(a) omu, Ali mu busatu.