Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 229 Nnaagenda Gy’oyagala Lyrics
1
Ku nsozi ennungi ennyo, Oba ku nnyanja embi ennyo,
Oba mu ntalo ez’amaanyi, Wonna w’onjagaliza;
Bwe mpulira nga- Ggwe ompita, Mu kkubo lye si-manyi,
Bw’ononkwata ku mukono- gwange, Nagenda gy’oyagala.
chorus 1
Nagenda gy’oyagala, Mukama; Kunsozi; oba ku-nnyanja;
Nayongeranga Ggwe by’oya-gala, Nze-Nnaabeera ky’oyagala.
2
Oba waliwo ebigambo, By’oyagala njogere,
Oba waliw(o) ali mu kibi, Gw’oyagala nkomyewo;
Nga Ggwe mukule-mbeze wange, Ekkubo wadde- nga bbi;
(O)bubaka bwo nze nnaabwoge-ranga, Njogere ky’oyagala.
3
Oba waliw(o) ekifo kyonna Mu nnimiro zo, Yesu,
Mw’oyagala nze nkukolere, Ggw(e) eyakomererwa;
Nga nesiga o-bukuumi bwo, Kubanga onja-gala,
Nka nkukolere nga ndi mwe-sigwa, Mbeere nga bw’oyagala.