Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 6 Mwe Amawanga Ag’oku Nsi Lyrics
1
Mmwe amawanga (a)g’oku- nsi,
Mujje tuvunname fenna!
Awali e-nte-b(e) e-nkulu,
Eya Mukama Katonda.
2
Nnannyini buyi-nza bwo-nna,
Yatuggya mu nfuufu fenna;
Ffe bwe twawa-ba-ng’e-ndiga,
Yayanguw(a) okutunoonya.
3
Tunajjuza (e)mi-ryango- gye,
Ennyimba ez amatendo;
Tumwebaze ne-ddo-boozi,
Nga tumutendereza nnyo.
4
(A)mateeka ge ga- mire-mbe
(O)kwagala kwe kuwangula;
(A)mazima ge- tega-kyuka,
Gabaaw(o) emirembe gyonna.