Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 9 Ggwe Eyannunula Lyrics
1
Ggwe eyannunula nebaz(a) ekisa kyo,
Mu Ggwe mwe mul(i) ensibuko y’emikisa gyonna,
Mu Ggwe mwe mul(i) ensibuko y’emikisa gyo nna,
2
Nze ndi kitonde kyo Ggwe (o)bulamu bwange,
Katonda wange, nsanidde okukusuutanga,
Katonda wange, nsanidde okukusuuta-nga.
3
Kale nnaakuwa ki anti byonna bibyo?
Mpayo omutima gwange, saddaka yomwavu,
Mpayo omutima gwange, saddaka yomwa~vu.
4
Nsaba ekisa kyo, kinjijuz(e) amaanyi,
Okwagala kwange kwonna kubeerenga kukwo,
Okwagala kwange kwonna kubeerenga ku-kwo.