Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 56 Wonya Bonna Lyrics
1
Wonya bonna ab(o) abali mu kibi,
Bakwakule okuva mu kufa;
Saasira abantu abalumw(a) ennyo,
Balag(e) obulokozi bwa Yesu.
chorus 1
Leet(a) abantu bonna, Abali mu kufa,
Bawone olw’ekisa kya Yesu.
2
Newankubadde nga bo bamunyooma,
Ye yetaaga okubalokola.
Abayita bonna n’okwagala kwe,
Bwe bakkiriza anaasonyiwa.
3
Ab(o) abayonoonebwa omulabe,
Mukama ajja kubazza buggya;
Olwokwagala kwe, era n’ekisa,
Anawoonya buli (e)kyonoonese.
4
Fubanga ku lw’abo bonn(a) abaabula,
Mukama anakuwa amaanyi.
Bakomyewo bangi mu kkubo (e)ddungi;
Bateegez(e) eyafa ku lw’ababi.