Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 45 Enjuba Eyaka Ku Ntikko Lyrics
1
(E)njuba eyaka ku ntikko, Ku nsozi ne ku nnyanja;
Omusana gulengerwa, Eri ku lubalama.
Naye omusana mungi, Gwaka mu mwoyo gwange,
Kuba Yesu ali mu nze, Aleeta enjuba ye.
chorus 1
Gwe omusana omulungi, Ogwaka munda yange;
Yesu Ggwe omusanyusa, Ggwe enjuba yange nze.
2
Mu nfuufu nze mwe ndireka, Ennaku zange zonna,
Nga onyambazizz(a) essanyu, Nettendo lyo eringi,
Mu maka agekitiibwa, Gewannongooseza nze,
Ndigenda nga njijjudde nnyo, Ekitiibwa kyo munda.
3
Mukama Ggwe eyantonda, Ndi wuwo okuv(a) edda;
Ettabaza yo gye wampa, Eyakenga bulijjo;
Mu maka ag’ekitiibwa, Gewannongooseza nze,
Ndigenda nga njijudde nnyo, Essanyu mu mutima.