Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 44 Tewali Wa Mukwano Lyrics
1
Tewali wa mukwano nga Yesu, Tewali, tewali;
Atuwonya endwadde z’omwoyo, Tewali, tewali.
chorus 1
Ye amanyi (o)buzibu bwaffe,
Alitutuusa mu ddembe;
Tewali mukwano nga Mukama;
Tewali, tewali.
2
Tewali mutukuvu nga Yesu, Tewali mulala;
So tewali muwombefu nga Ye, Ye yekka, Mukama.
3
Bulijjo abeeera kumpi naffe, Kumpi nnyo, Kumpi nnyo;
Ne mu kizikiza atwakira, Abeera kumpi nnyo.
4
Yesu ayinza okutuleka? (O)mwesigwa, tayinza!
Agoba omubi ajja gy’ali? (O)kugoba, tayinza!
5
Kirabo ki ekyenkana Yesu, Tewali na kimu!
Alitutuusa gy’ali mu ggulu? Agambye, wewaawo.