Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 223 Mukama Omuyaga Mungi Lyrics
1
Mukam(a) omuyaga mungi! Gukunta nnyo ku nnyanja!
Ekizikiza kunsi kingi sirina kiddukiro, Tofaayo nga tufa ffena, Lwaki gwe webase?
Twelalikiridde ennyanj(a) eno, Eyinz(a) okutumira.
chorus 1
Temutya mayengo na muyaga – mu – – gume!
Ennyanja nebwenesiikuka, Ba dayimon(i) oba bantu wadde kiki!
Ennyanja teyinza kusanyawo, Ekyombo Mukama ng’ali mukyo.
“Byonna nze bin fukamirira, Mugume, mugume;
Bigonder(a) eddoboozi lyange, mmwe temutya.”
2
Mukama nze nzize wooli n’obuyinike bungi;
Omutima gwange gukooye zuukuka ondokole; Ebibi binnakuwazza, Bigenda kunzita
Omulokozi wange Mukama, Ggwe wekka ggwe nneesiga.
3
Mukama entiis(a) egenze n’ennyanja yonna nteefu,
Lab(a) enjuba yange etuuse, nens(i) etangadde yonna, Mununuzi beera nange, Era tonvangako
Mu ssanyu ndituuka emitala, Mu makaago ggulu.