Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 214 Ndimulaba Kabaka Lyrics
1
Ndimulaba Kabaka mu ggulu, Lumu nze ndimulaba
Nga ayimbirwa bamalayika Mu nsi esinga eno.
chorus 1
Ndimulaba, Mu kitiibwa kye
Mbe bulijjo, nga ntendereza;
Eyanfiirira, ku musalaba
Ndimulaba Ka – – – baka.
2
Mu ns(i) ey’ennyimba, Ey’ekitiibwa, Eteri kizikiza;
Ndifugir(a) eyo, wamu ne Yesu, Eyafa ku lwangenze.
3
Ndimulaba n’amaaso Kabaka, Nze ndimutendereza;
Ndiyimba ku kwagal(a) okwamussa, Ekisa kye kimala.