Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 20 Mukama Lwe Lwazi Lwaffe Lyrics
1
Mukama lwe lwazi lwaffe, Eri oyo gyetweyuna;
Ye atuwonya mu kabi, Ye kye kiddukiro kyaffe.
chorus 1
Ggwe Olwa-zi olw’amaanyi,
Obwekwe-ko bw’abanaku,
Omusaa-le w’abayise,
Ggwe (e)kiddukiro mu nnaku.
2
Ye atuwonya byonna, Eri oyo gyetweyuna;
Tetutya ntiisa ya mubi, Ye kye kiddukiro kyaffe.
3
Ennaku bwe zitujjira, Eri oyo gyetweyuna;
Mwe muli eddembe lyaffe, Ye kye kiddukiro kyaffe.
4
Ggw(e) Olwazi lw’abantu bonna, Eri Ggwe gyetuddukira;
Otuyambenga bulijjo, Beera kiddukiro kyaffe.