Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 170 Sitwalibwa Bugagga Lyrics
1
Sitwalibwa bugagga feeza oba zaabu,
Njagala bya mu ggulu Nokutuuka gy’oli;
Mu kitabo kyo Yesu Omuli amannya,
Mbulirako, Mukama, Mulimu eryange?
chorus 1
Mu kitabo omwo omuli amannya,
Ontegeeze, Mukama, mulimu eryange?
2
Ebibi byange bingi Binzitowerera,
Naye omusayi gwo Tegulemwa kibi,
Yesu Ggwe wasuubiza Mu Byawandikibwa
Ebibi byaffe byonna, (O)kubifuul(a) ebyeru.
3
Mu kibuga kyo Yesu, Kye watekateeka,
Nekitiibwa ekingi Ekimasamasa,
Ekibi gye kitajja, Kwonoona baana bo,
Okuli abakuumi, Nange wampandiika?