Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 154 Netaaga Omulokozi Lyrics
1
Netaaga Omulokozi, Kuba nze ndi munafu;
Netaga okuba naye, Ng’ankutte ku mukono.
chorus 1
Mu byonna nnaagumanga, Antwale gyayagala,
Nnaagenda seemulugunya, Bwenkulemberwa Yesu.
2
Netaaga Omulokozi, Siyinza kuwangula,
Wabula ye bw’anang’umya, Neddoboozi ly(e) eddungi.
3
Netaaga Omulokozi, Mu kutambula kwange,
Mu buzibu bwange bwonna, N’ebikemo by’omubi.
4
Netaaga Omulokozi, Andagenga ekkubo,
Amponye mu ntalo zange, N’okuwangula byonna.