Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 117 Wanaazibwa Mu Musaayi? Lyrics
1
Wanaazibwa mu musaayi gwa Yesu, (O)musaayi gw’Omwana gw’Endiga?
Wesiga ekisakye olwaleero, Onaabye mu musaayi gwa Yesu?
chorus 1
Onnabye Mu musaayi, Ogwa Yes(u) ogunaaz(e) ekibi?
(E)ngoye zo zitukudde ng’omuzira, Onaabye mu musaayi gwa Yesu?
2
Bulijjo gwe otambula ne Yesu, Onaabye mu musaayi gwa Yesu?
Wekwese mu Yes(u) eyakomererwa, Onaabye mu musaayi gwa Yesu?
3
Bwalij(a) alisang(a) engoye zo njeru, Zozeddwa mu musaayi gw’endiga?
Oliba osaanidde gwe eggulu, Ng’onaabye mu musaayi gw’endiga?
4
Yambul(a) engoye zikongedd(e) ekibi; Onaabe mu musaayi gw’endiga,
Waliw(o) ensul(o) ekulukut(a) enaazaa, Naazibwa mu musaayi gw’endiga.