Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 113 Waliwo Ensulo Ey’omusaayi Lyrics
1
Wa-liw(o) ensul(o) ey’omusaayi, O-kuva- mu- Yesu;
A-bonoonyi banaabamu, Ne-bawon(a) ekibi.
Ne-bawon(a) ekibi- Nebawon(a) e-ki-bi,
A-bonoonyi banaabamu, Ne-bawon(a) ekibi.
2
(O)mu-bbi oli yasanyuka (O)ku-lab(a) ensul(o) e-yo;
Na-nge omwonoonyi ennyo, Nnaa-tukuzibw(a) omwo.
Nnaa-tukuzibw(a) omwo — Nnaatukuziwbw(a) o-mwo;
Na-nge omwonoonyi ennyo, Nnaa-tukuzibw(a) omwo.
3
A-yi Omwana gw’Endiga, (O)mu-saayi gwo gu-kola;
(O)ku-tuusa ekkanisa yo, Lwe-linunulibwa.
Lwe-linunulibwa – Lwelinunu-li-bwa;
(O)ku-tuusa ekkanisa yo, Lwe-linunulibwa.
4
(O)ku-va lwennalab(a) ensulo, E-y’ebiwundu byo;
Ndo-wooza ku kwagala kwo, (O)ku-tuusa lwe ndifa.
(O)ku-tuusa lwe ndifa (O)kutuusa lwe ndi-fa;
Ndo-wooza ku kwagala kwo, (O)ku-uusa lwe ndifa.
5
Kululi lwendizuukira, O-kuva mu ntaana,
A-maanyi g(o) agalokola, Ge-ndiyimbangako.
Ge-ndiyimbangako – Gendiyimba-nga-ko,
A-maanyi g(o) agalokola, Ge-ndiyimbangako.