Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 189 Olw’ekisa Kyo Nnengera Lyrics
1
Ku musalaba nnengera (E)nsuulo y’obulamu:
Mukama Omulokozi Ndab(e) ebiwundu byo,
chorus 1
Mu mugga gw’obulokozi Ka nnabemu ntukuzibwe;
Yesu yebal(e) antukuza, Antukuza n’omusaayi.
2
Nze nfuuka kitonde kiggya, Olw’omusaayi gwe;
Eby’edda byonna biggwawo, Olw’amaanyi ge ye.
3
Ka ntambule mu maanyi ge, Setaani tannyinze;
Ebibi byonna bigende, Yesu andokole.
4
Olw’omusaayi gwa Yesu, Ensi tekyanfuga:
Yesu Mukama yamponya, Oyo eyattibwa.