Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 95 Bye Tukuwa Biva Gy’oli Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 95 Bye Tukuwa Biva Gy’oli Lyrics

 

1
Byetukuwa biva gyoli, Kabibe nga byenkana wa!
Byetulina byonna bibyo, Birabo by’o-tuteresa.

2
(O)tuw(e) ekisa tubeereng(a) Abawanika b(o) abesigwa;
Nga twesoloza n’omwoyo, Ku bintu bye-tuli nabyo.

3
(A)mawang gonn(a) ag’omu nsi, Getaaga nny(o) Omulokozi;
Abantu be wafiirira, Bawab(a) era- basasana.

4
Gwe mulimu gwaffe fenna, (O)kukomyawo abakyama;
(O)kunoony(a) ababula era, (O)kujjanjab(a) a-bafiiriddwa.

5
Bwatyo Yesu bwe yakola, Ne yewaayo okutuwonya;
Naffe tumugoberere, Abonoonyi- balokoke.

6
Yesu yatuyigiriza, Ebyo bwe bimukolerwa;
Fenn(a) atunyikize wonna (O)kugaba n’o-kumuddiza.

Exit mobile version